Abalwanyisa ekyokuggyawo UCDA mulina Abazungu ababasasula – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nayanukula ku nsonga y’ebbago ly’ebyobulimi eryayisiddwa mu Palamenti naddala ku nsonga z’ekitongole ekirondoola omutindo wamu n’okulaakulanya ekirime eky’emmwaanyi mu Ggwanga ekya UCDA; “Mbalamusizza nnyo Bannayuganda naddala Abazzukulu, ‘Balenkanga bye basaanidde okukola, nebakola byebatasaanidde kukola, n’amazima tegali mu bbo.’ Abalina okunenyezebwa beebo abaleeta ebyokusosola mu mawanga ebyekisiru mu nsonga eno. Katikkiro Mayiga bweyatwegattako mu kutumbula ekirime ky’emmwaanyi twamwaniriza.
Ebimu ku bitongole bino byetuggyawo byatandikibwawo Gavumenti ya National Resistance Movement – NRM ebyenfuna by’Eggwanga bwebyali mu matongo nga n’abakozi ba Gavumenti bafuna omusaala mutono.
Uganda National Roads Authority – UNRA yatandikibwawo mu 2008, National Agriculture Advisory Services – NAADS 2001, Uganda Coffee Development Authority – UCDA 1991, Dairy Development Auhority – DDA mu 2000. Wabula ekyenaku byonna tebyatuukiriza bigendererwa bya Gavumenti ya NRM mukulaakulanya abantu.
Bwetwaleeta Operation Wealth Creation – OWC nayo yatandika okwonoonyeka abantu nebatandika okugamba nti; begabira bokka, bagaba bifu, badumuula ebbeeyi yaabyo, baleeta ebintu ng’obudde buyiseeko nebirala. Wabula bino era babyogera bwetwali tutandika UCDA, NAADS nebirala. Kyetwava tutandika PDM nga tuwa abantu ssente bbo begulire ensigo n’ebirala ku miruka ate netubawa emyooga ku Constituency batandikewo ebintu ebirala ebitali mu bulimi.
PDM ekoze bulungi nnyo mu bitundu gyeteekeddwateekeddwa obulungi. Kiba kyabwewussa aba NAADS, UCDA nabala okugamba nti bakoze kyamaanyi nnyo okulaakulanya ebyobulimi nti era webatali bigenda kuggwa.
Tekiba kyabwenkanya okuleeta eby’Amawanga buli NRM weba egezaako okutereeza. Amakolero gonna agamaanyi NRM gezimbye gali mu Buganda – Namanve, Mukono, Kapeeka, Matugga – Gombe, Luweero Industries e Nakasongola ne Kisozi namalala. Gano gonna gayamba bantu abalinaanyeewo.
Nabwekityo mmwe abataagaliza mulekerawo okubuzaabuza abantu, emmwaanyi NRM yezizizza engulu.
Tutandise okunoonyereza ku bantu abo abalwanyisa ekyokuggyawo ebitongole tulabe oba tebali ku musaala gwabagwiira.”
Leave a Reply