Executive Director wa UNAIDS era mukyala wa Dr. Kizza Besigye, Winnie Byanyima avuddeyo nategeeza nga abebyokwerinda ku ggeeti ya Kkooti y’amaggye e Makindye bwebawambye ensawo ya Munnamateeka Martha Karua wabula oluvannyuma lwokwogerezeganya okumala akabanga wamu n’abasirikale bano okukuba amasimu agawerako mu babakulira bamuddizza ensawo ye.