Pulezidenti Museveni alabudde amagye okubutaddayo kuboggolera n’okukola olukkaalikkaali lwonna ku bantu ba bulijjo n’agamba nti abajaasi ab’empisa ensiiwufu nga bano tebalina kifo mu ggye lya UPDF.
Museveni era alabudde abantu b’ayise ‘’abasiru’’ abalina ekirowoozo ky’okutabangula emirembe banuune ku vvu kuba bajja kusanyizibwawo.
Yabadde ku mikolo gy’okukuza olunaku lw’amagye olwa ‘’’Terehe Sita ‘’ olw’omulundi ogwa 38 olubaawo Febuary 6, buli mwaka. Ku lunaku luno mu 1981, abayekera ba NRA abaali baduumirwa Yoweri Museveni (nga tanafuuka Pulezidenti ) baatandika olutalo olwasuula gavumenti ya Obote ne Gen. Tito Okello Lutwa bwe baalumba enkambi y’amagye e Kabamba – Mubende.
Olutalo luno lwe lwaleeta Pulezidenti Museveni mu buyinza mu 1986 kyokka ng’erinnya lya NRA lyakyusibwa mu kukola Konsituusoni ya 1995 ne lifuuka UPDF.
Emikolo gy’okukuza olunaku luno gyabadde ku ttendekero ly’abasomesa erya Kitgum Core PTC e Kitgum mu Acholi era Pulezidenti Museveni gye yasinzidde okulabula abajaasi be nti : ‘’ Temukkirizibwa kuboggolera bantu ba bulijjo kubanga be bakama bammwe. Abantu ba bulijjo be babazaala.’’
Abajaasi 188 bawereddwa emidaali. Pulezidenti yagambye nti ng’ogyeko empisa eggye lirina okuba n’omwoyo gwa ggwanga n’okukiririza mu bumu bw’Omufirika.
Yagambye nti obumu bw’Omufirika bujja kusobozesa eggwanga erimu okutambuza n’okutunda ebyamaguzi mu ddala.Nga yeyambisa erinnya ly’eyali omumyuka wa Pulezidenti Gilbert Bukenya ‘’Baalibaseka’’, Museveni yagambye nti abaali basekerera NRM ky’ekiseera batunule balabe by’etuseeko.
Yasuubiza okukolera abatuuze b’omu kitundu enguudo ezitanakolebwa. N’agamba nti ekitundu ky’obukiikkkono (North) kigenda kubaamu amasanyalaze mangi n’okusinga e Jinja y’ensonga lwaki kyetaaga okukolebwamu ekibangirizi ky’amakkolero ekinene mu kifo ky’okulowooleza mu kugatambuza okuva eyo okugaleera e Kawanda okumpi n’e Kampala.
Yakuutidde abantu okulwana okulinnyisa enfuna yabwe mu maka nga bayita mu kutumbula ennimi ey’omulembe n’okuva mu kulowooleza mu kulima emmere ey’okulya balime yakutunda.
Yannyonnyodde nti kino balina okukikola nga ne gavumenti bw’efuba okussaawo embeera eneesitula ebyenfuna ng’okuleeta bannamakolero. Yassizza abantu enseko bwe yasiimye omubaka w’ekibuga Kitgum eyali owa FDC Beatrice Anywar olwa kye yayise okukomya okwambala ebigoye ebya langi birango ebitategerekeka n’adda mu ‘kyenvu (ng’eno ne langi ya NRM).
Akulira eby’okukunga abajaasi mu by’obufuzi Brig. Henry Matsiko yagambye nti bikujjuko by’okukuza olunaku lw’amagye UPDF egabye obutimba bw’ensiri 100,000, n’ejjanjaba abalwadde 15,541 n’okugaba omusaayi.
Minisita w’eggwanga ow’ensonga z’ebweru, Okello Oryem yasuubizza okufunira Pulezidenti Museveni ettaka mu kitundu kya Acholi naddala mu Cwa East okutandikawo ffaamu esomese abantu eby’obulimi bw’omulembe.