Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku busandali n'ebigwabitalaze, Musa Ecweru agamba nti abanoonyi b'obubudamo abayiika nga enkuba mu ggwanga lyattu Yuganda batandise okufuuka ekizibu mu bitundu mwebabeera olw'okuba nga ebikozesebwa ku bitundu (Social Services) ebibaddewo tebimala.
Eggwanga lyattu Yuganda kati wetwogerera lirina abanoonyi b'obubudamo akakadde kamu mu emitwalo ana (1.400.000) nga bano bava mu mawanga omuli South Sudan,Burundi, DRC ne Somalia era wano Minisita w'ategeerezza nti bano bafuuse kizubu eri eggwanga nga kyetaagisa obuyambi okuva mu mawanga amalala.
Ecweru bino abituuseeko ng'asinziira mu lukungaana lwa Bannamawulire ku yafeesi ya Ssaabaminisita, era n'akikkaatiriza nti ekivuddeko emberebezi bwetutabanguko obuli mu mawanga agatuliraanye.