Abantu 10 bebafiiridde mu kabenje k’ennyonyi mu nsozi z’e Aberdare mu Kenya

Epipapajjo by’ennyonyi eya FlySax 5Y-CAC eyabula gyebuvuddeko kulw’okubiri bisangiddwa mu kibira kye Aberdare mu nsozi z’e Aberdare. Abantu 10 ababadde ku nnyonyi eno bonna bafudde. Gino gigiddwayo negitwalibwa mu ggwanike ly’e ddwaliro lya Njambini gigibweyo olwaleero gitwalibwe ku ‘Lee Funeral Home’ okusobozesa abantu okulondako ab’enganda zaabwe.

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’ennyonyi mu ggwanga lya Kenya ekya ‘Kenya Civil Aviation Authority’ kitegeezeza nti ennyonyi eno yabuuse okuva ku kisaawe ky’e Kitale ku ssaawa kkumi ez’olweggulo neyolekera ekisaawe kya ‘Wilson Airport’ e Nairobi wabula nekyuusibwa olw’embeera y’obudde eyabadde embi nebagiragira egende ku kisaawe kya ‘Jommo Kenyata International Airport’ gyetasobodde kutuuka nga nga bakomye okugiwuliza ku ssaawa kumi n’emu ez’olwegulo.

Bano ekumi kwabaddeko Captain Barbra Wangeci, Officer Jean Mureithi, Ahmed Ali, Khetia Kishani, Pinuekerton Ronald, Kabara Waweru, Matakasarai Thamani, Matakatekei Paula, George Ngugi ne Robinson Wafula.

Leave a Reply