Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nti abantu 35 abalumizibwa mu bbomu ezatulisibwa ku CPS ne Parliamentary Avenue mu Kampala basiibuddwa okuva mu Ddwaliro e Mulago nga bbo abasirikale ba Poliisi 2 bakyaliyo nga bakyafuna obujanjabi.