Omwogezi wa Uganda Police Force, CP Fred Enanga agamba nti ab’ebyokwerinda abanoonyereza ku kuttibwa kw’Omuyizi w’e Makerere Tegu Emmanuel 24 bavunaanye abalowoozebwa okumutta 4 mu Kkooti ya LDC. Omugenzi yakubwa nga 27-6-2020 natuusibwako obuvune obw’amaanyi obwamuviirako okufa nga 3-7-2020 mu Ddwaliro e Mulago Kiruddu.
Bano kuliko Oigu Charles 34, Councilor; Nyeko Balam, 33 Security Guard, Kakuru Johnson 24, Mutuuze w’e Makerere ne Ssekitoleko Moses 21 omutuuze w’e Makerere.
Ebikolwa byabwe byekakasiddwa ‘Post mortem Report’ eyalaze nti ekyamuviiriddeko okufa kyava ku buvune obwamutuusibwako nga akubwa, amabwa ku mugongo, okulunguula kw’emiggo mu mugongo n’obukongovule.
Ebyakazuulwa biraga nti nga 27-6-2020 omugenzi yava ewa mwannyina Racheal Ariongeti e Namungoona gyabadde abeera ne muganda we Sam Okwalinga nagenda okusaba e Makerere wabula ku ssaawa 4 ez’ekiro, yasangibwa PC Mukose Farouk eyali alawuna emabega wa Main Building nga ku ttanka y’amazzi eyamusanga namubuuza kyeyali akolawo mu budde obwa obwali bugenze.
Poliisi egamba ono yayanukula nakukasukira musirikale mayinja ekyamuwaliriza okukuba amasasi 3 mu bbanga okumutiisa wabula mbu omugenzi nasigala nga akasuka amayanji ekyawaliriza omusirikale okumuviira era nategeeza amukulira.
Omugenzi yadduka nga ayolekera Kkanisa ya St. Augustine ne Centenary bank, gyeyagezaako okulwana n’abakuumi baawo 3 abamusinza amaanyi.
Bano bamukuba n’obutebe bw’ebyuuma bwebajja mu weema y’abagenyi era wano weyalajanira nga asaba obuyambi ekyaleeta abantu 10-15 abatuuze ba zone 1 ne West Road Quarters okuliraana Lumumba hall. Ku bano abajja kwaliko n’Abavubuka abegatta ku bakuumi nebatandika okumukuba nga balowooza nti mubbi.
Ono yadda awaka embeera gyeyatabukira natwalibwa ku Mild May Clinic e Sseguku nga 30-6-2020 eri omusawo wa Famire Dr. Arinda Anita eyabasindika e Rubaga bakebere oba yalina obuzibu n’ensigo olw’okuba yali tafuka. E Rubaga gyeyagibwa natwalibwa e Mulago National Referral Hospital, Kiruddu gyeyafiira nga 3.07.2020.
Poliisi egamba oluvannyuma lw’okwetegereza akatambi nezuula nti abasirikale ba SGA n’abalala 7 bebakuba omugenzi.