Uganda Police Force evuddeyo netegeeza nga bwekutte abantu 4 olwokugezaako okubba obukadde 43 okuva ku akawwunti ya Gen. Salim Saleh eri mu Stanbic Bank – Uganda.
Bano okuli; Isima Katende, Mawejje Yahaya, Mukasa Tukiko, ne Ssemwogere Steven kigambibwa nti nga 16-April-2021, bayingira mu emali ya Gen. Saleh nebawandiikira Maneja wa Bbanka ya Stanbic nga bamulagira asindike ssente ku nnamba z’amasimu zino; 0704799395, 0707382702, 0750669242 &
0705588790 nga akozesa Mobile Wallet.