Abantu abakiririza mu situlago muyige okutegeera lwaki omuntu ayogera oba akola kyaba akoze – Bobi Wine

Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine avuddeyo ku Propaganda; “Nkyogeddeko emirundi mingi engeri Gavumenti za Bannakyemalira gyezikozesa pokopoko okwekuumira mu buyinza. Era nannyonyola engeri gyezimalira ensimbi empitirivu mu pokopoko nga ssente zino zandikozeseddwa okutuusa obuweereza ku Bannansi.
Mu Yuganda, mulimu abantu bangi abasasulwa okutambuza pokopoko mu ngeri ez’enjawulo wabula nga balina ebirowoozo byebimu ne Gavumenti. Bano sibafaako nnyo kuba ebigendererwa byabwe mbimanyi. Nakuwalirako nnyo abo ababawa amatu. Bayita mu ngeri eziwerako zegenda okubannyonyola;
1. Abamu batandika nga abawagira situlago, nebatandika n’amaanyi mangi wabula baba n’obudde obugere okugeza emyezi 6 egisooka, asobola okujja ngawakanya Pulezidenti Museveni n’abali b’enguzi ku mutimbagano, Leediyo oba TV wabula ngalina ekigendererwa. Emyezi gino 6 gibeera gyakumuyamba kufuna bagoberezi bwamala akyuusa emmundu nagiboolekeza tazuukuka buzuukusi nebatandika okulwana situlago.
Basooka kuvaayo nebemulugunya ku bitambula mu situlago ebiyinza okulabika ng’ebituufu. Balondayo abamu ku banaffe bebalowooza nti banafu nebatandika okubalumba. Bavaayo n’obulimba bwebazimbye obulungi ku banaffe era nga batwala obudde okutandika entalo zaabwe. Omuntu ono singa avaayo neyerwanako awo webaviirayo nebatuyita abayaaye abeffujjo.
2. Abalala avaayo nategeeza nga bwawagira enkyuukakyuuka. Bagamba nti tebawagira Gavumenti wabula bwewekkaanya byeboogera okizuula nti bamala ebitundu 80 ku 100 ku budde bwabwe nga balumba abakulembeze abali mu situlago. Bamala ebitundu 20 ku 100 ku budde bwabwe ku ngeri gyebataagalamu Gavumenti. Bano bamanyi engeri buli kimu gyekirina okutambuzibwamu, naye tebakiriza yadde okwenyigira mu kukiteekesa mu nkola.
Omulimu gwebakola kwekuwakanya buli kyetuvaayo nakyo. Obukulembeze bwa NUP bwebutagamba bantu kwekalakaasa bajja kubavuma olwobutakunga bantu kwekalakaasa. Bwobawulira boogera olowooza bebajja okusooka ku nguudo okwekalakaasa. Naye singa abakulembeze ba NUP bavaayo nebakunga abantu okwekalakaasa bavaayo mangu nebakyuusa olutambi nebawoza nti Bobi Wine asindise abaana babandi ku makubo battibwe, asooke asindike ababe ku nguudo.
Ekigendererwa kyabwe kumalamu bantu maanyi.
3. Abalala bavaayo nebalaga nga bwebaagala okuwagira omukulembeze wa situlago wabula nga bamulumba naabo baakola nabo. Bano balaga nti bamwagala 100 ku 100, wabula bwobekkaanya obulungi okizuula nti balumba buli omu.
4. Ab’omulundi ogwokuna beebo abawagira Gavumenti era nga tebakikweka. Essaawa yonna babeera betegefu okunoonya ekitatambula bulungi mu situlago bakyogereko bwebatakifuna nga batandika kufumba byebanayogera. Bebavaayo nti nagula ennyumba mu Amerika. Bwekitakwatayo, ngabawoza nti Museveni yangulira emotoka ya bullet proof. Batandika okwebuuza nti agula atya emotoka eya bullet proof nga Gavumenti temanyi? Bwagiwamba nga batandika kuwoza nti yamugulibwa Bazungu bakyankalanye eggwanga.
Abali mu mutendera ogwokuna bangu nnyo okusirisa kuba ebigendererwa byabwe bibeera bimanyiddwa.
Abantu abakiririza mu situlago muyige okutegeera lwaki omuntu ayogera oba akola kyaba akoze. Ekyo kikulu nnyo.”
Leave a Reply