Omukulembeze w’eggwanga lyattu Yuganda, Yoweri Kaguta Museveni agamba nti waliwo abantu abeelemezza mu bwavu bokka nga kino kivudde kubamu okwekwasa obusonga obutaliimu gamba nga obutaba na masannyalaze .
Omukulembeze w’eggwanga asinzidde ku kisaawe eky’essomero lya Ssekanyonyi Roman Catholic mu ggombolola ye Ssekanyonyi e Mityana , n’agamba nti waliwo ebintu ebimu gamba nga okulunda nga tebyetaagisa masannyalaze abantu byebayinza okwenyigiramu nti kyokka bangi babibuusa amaaso nebadda mukwekwasa Gavumenti tetuwadde masannyalaze.
Pulezidenti mungeri yeemu agamba nti abamu balemererwa okwawula enkulaakulana n’onbugagga ksonga ate obugagga bubeera bwa ssekinnoomu .
Wabula ye Ssentebe wa Disitulikiti y’e Mityana, Joseph ategeezezza omukulembeze w’eggwanga nga bwebasanze ekizibu ky’ekibba ttaka nga abamu babulwako newebalima ebirime ebigabibwa wansi w’enkola eya Operation Wealth Creation.