Abantu abawerako balumiziddwa mu kabenje akagudde mu maduuka g'e Bulami ku luguudo oluva e Kampala okudda e Ziroobwe .
Abeerabiddeko n'agaabwe bagamba nti Mmotoka kika kya ttipa nnamba UAK 030R ebadde eva e Kampala okudda e Ziroobwe etomereganye ne Takisi nnamba UAU 691A nezitomeregana bwenyi ku bwenyi.
Bagamba nti abantu abamu batemyemu bateme mu Mmotoka era abalala bakutuse amagulu . Kibi ekyo.