Police egamba nti mu biseera by'ennaku enkulu abantu abawerako batemuddwa mu bitundu by'eggwanga ebiwerako.
Bw'abadde ayogera mu lukungaana lwa bannamawulire ku kitebe kya Police mu Kampala n'emiriraano ekimanyiddwa nga CPS, Omwogezi wa Police Emilian Kayima agambye nti abantu abamu beebeggye mu budde Kyokka abalala baatirimbuddwa butirimbulwa era Police yabakanye dda n'ogwokunoonyereza.