Abantu ba Buganda basabiddwa okukola ekiraamo nga bukyali okusobola okwewala enkaayana eziva ku ngabanya y’eby’obugagga by’omugenzi.

Abantu ba Buganda basabiddwa okukola ekiraamo nga bukyali okusobola okwewala enkaayana eziva ku ngabanya y’eby’obugagga by’omugenzi.
Bino Katikkiro Charles Peter Mayiga abyogeredde ku kyalo Buyinja-Masaka mu Dduwa y’okusabira omugenzi Hajjat Mariam Namutebi, Maama wa Oweek Ahmed Lwasa Omumyuka w’omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda e Masaka wamu n’okulaga omusikaawe.
Katikkiro agamba nti kizibu okuwulira enkaayana ku bintu by’omugenzi naddala nga omusika mukyala. Abakyala balina obwesige okusinga abasajja.
Omumyuka wa Supreme Mufti Sheikh Bulaimu Ntanda Muzzanganda nga yabadde omugenyi omukulu asabye abazadde bagunjule abaana mu mpisa ez’obuntubulamu bafuuke abatuuze abatuukiridde mu buwangwa bwaffe.
Maayi Namutebi yasikidde Mariam Namutebi.
Dduwa yeetabiddwako, Omumyuka ow’Okubiri owa Katikkiro era Minisita webyensimbi n’okuteekerateekera Obwakabaka Oweek Robert Waggwa Nsibirwa, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Oweek Patrick Luwaga Mugumbule, Minisita w’Ettaka Obulimi n’obutondebwensi Oweek Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, Minisita omubeezi ow’obulimi n’Obwegassi Oweek Hajji Amisi Kakomo, Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu Oweek Joseph Kawuki n’Omukyala, Minisita wenkulaakulana y’Abantu Oweek Dr. Prosperous Nankindu Kavuma n’Omwami, Ssaabaganzi Emmanuel Ssekitooleko, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, Abamyuka ba Pookino, ababaka b’olukiiko, Ssenkulu wa BBS TEREFAYINA Patrick Ssembajo, n’abakungu abalala bangi.
Leave a Reply