Ba Ofiisa ba Police bataano nga bavunaanyizibwa ku bidduka e Jinja bagombeddwamu obwala oluvannyuma lw’omugoba wa Takisi asangiddwa nga z’embuyaga ezikaza engoye era nga omulambo gwe gwasangiddwa nga gutengejjera ku mugga Kiyira ku kyalo Buwende ekisangibwa mu ggombolola y’e Mafubira ekiri mu Disitulikiti y’e Jinja.
Ayogererera Police mu bitundu bya Kiira, Samson Lubega atutegeezezza nti omugenzi ye Jinny Nyanzi atemera mu gy’obukulu 30 era nga abadde mutuuze ku kyalo Naminya ekisangibwa mu ggombolola y’e Wakisi mu Disitulikiti y’e Buyikwe.
Ye Ssentebe w’abagoba ba Takisi mu kitundu kino, Khalid Muyingo agamba nti ku lwokubiri lwa ssabbiiti eno abaserikale b’ebidduka baayimiriza Muyingo ku lutindo lw’e Nalubaale okumukebera kubanga yali atisse kabindo, wabula omugoba ono yasaako kakokola tondeka nnuyuma era okukakkana nga Ofiisa wa Police omu omusimbyeko wabula oluvannyuma ofiisa waPolice ono yakomawo ng’ategeeza nga omusajja bwamubuzeeko naye nga ofiisa wa Police ono ateeberezebwa okuba nga yasooka kumuweweenyula migoba nte n’oluvannyuma naamukanyuga mu mazzi.
Okusinziira ku alipoota eva mu ddwaliro ekkulu e Jinja egamba nti ono yafudde oluvannyuma lw’okubbira okwo gattako n’ebiwundu ebyasangiddwa ku mutwe.