Abasaabaze ababadde mu Kamunye basimattuse amagombe oluvannyuma lw’emmotoka mwebabadde okutomerwa eggaali y’omukka e Bugoloobi ku njegooyego z’ekibuga Kampala .
Eggaali y’omukka eno ebadde eva e Kampala ng’eyolekedde Nakawa kigambibwa nti efuuye engoobe yaayo okubaguliza ku bantu beesegule mu kkubo lyayo wabula omugoba wa Kamunye tasobodde kugiwulira era okukkakkana nga baambalaganye bukanzu .