Abasawo bagabudde biberenge ku kabaga kaabwe – Kayunga

Abasawo mu Disitulikiti y’e Kayunga bawuniikirizza abagenyi baabwe beebaayise ku kabaga kaabwe akaggalawo omwaka , bwebabagabudde eccupa ya Soda emu emu n’ebiberenge.

Abagenyi bagamba nti babadde balinze nti oba oli awo ebirala bijja, baagenze okulaba nga balangirira nti akabaga kawedde.

Bo abasawo bagamba nti ekireese kino mbeera ya byanfuna ebadde embi mu mwaka guno wabula nga bulijjo bakola akabaga akategeerekeka era nabo kebategeera obulungi.

Ekiberenge kino ekigabuddwa ku kabaga tekiriiko gwekisosodde nga n’abadde omugenyi omukulu kyalidde.

Leave a Reply