Ababaka ba Palamenti basembye abasawo b’ekinnansi n’abalala abatunda eddagala ly’obutonde bassibweko obukwakulizo obubagaana okumala geeranga n’okweyita ebitiibwa by’obwa Ddokita nga tebasoose kufuna lukusa.
Ababaka era basembye Yunivasite n’amatendekero amalala gatandike okusomesa n’okugaba diguli n’ebbaluwa endala mu ddagala ly’ekinnansi n’ery’obutonde (Bsc Herbal medicine) kiyambe mu kulyongerako omutindo.
Bino biri mu lipooti y’akakiiko ka Palamenti ak’ebyobulamu ekwata ku tteeka erigenda okulung’amya enzijanjaba egoberera eddagala ery’ekinnasi n’eryobutonde eddala erimanyiddwa nga ‘’ Indigeneous and Complimentary Medicine, Bill.’’ Ligenderera okulwanyisa abafere abayinza okuyingira omulimu guno ne babba abantu.
Etteeka ligenda kussaawo akakiiko k’eggwanga akagenda okulondoola n’okulung’amya abakola omulimu gw’okutunda n’okukola eddagala ly’ekinnasi. Akakiiko kagenda kubeerako abantu musanvu ng’abamu ku bo kuliko;abakikirira abasawo b’ekinnansi n’abakola n’okutunda eddagala eddala ery’obutonde ,akikirira ekitongole ekivunaanyizibwa ku mutindo gw’eddagala ekya National Drug Authority,kaminsona wa minisitule y’ebyobyabulamu.
Mu lipooti eri palamenti, abakakiiko ka palamenti kano akakulirwa Michael Yiga Bukenya (Bukuya) baagambye nti abasawo n’abalala abatunda eddagala ly’obutonde bayitiridde okweranga mu ngeri ewubisa abantu kwe kusemba bassibweko akakwakulizo k’obutamala geeranga okuggyako nga be balanga bisoose kukakasibwa kakiiko kagenda kuvunaanyiibwa ku mulimu guno.
Ababaka era bagambye nti abasawo n’abatunda eddagala ly’ekinnansi baganibwe okweyita ebitiibwa ng’ebyobwa dokita okuggyako nga basoose kubisoma kuba nakyo kiwabya abantu.
Akakiiko kano ke kagenda okuvunaanyizibwa ku by’okuwandiisa abagenda okukola omulimu gw’obusawo bw’eddagala ly’ekinnansi wamu n’obutendeke obubeetagisa okuweebwa ebbaluwa eneebasobozesa okukola omulimu guno.
Omukungu w’akakiiko kano ng’ayambibwako omuserikale wa poliisi bajja kuba n’obuyinza okulambula ekifo abatunda n’abajanjabisa eddagala ly’ekinnansi n’eddala ery’obutonde we bakolera emirimu gyabwe n’okuzuula oba balina obukugu okukola omulimu guno.