Abasirikale ababadde mu kibinja kya Flying Squad basunsulibwamu ne baggyibwako emmundu era nebalagirwa okuwaayo byonna byebabadde bakozesa.
Olunaku lw’eggulo abaserikale 274 ababadde bakolera mu flying Squad beeyanjudde ku kitebe kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango e Kibuli ne baddamu okusunsulwamu.
Abaserikale bano bwe baabadde bava mu bitundu gye bakolera baalagiddwa okuvaayo na buli kintu kye babadde bakozesa omuli emmotoka, radio call n’ebirala.
Vincent Ssekate omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango yagambye nti okusunsula mu baserikale bano kiddiridde ekiragiro ekyaweebwa omuduumuzi wa poliisi mu ggwanga Martin Okoth Ochola ekyafuluma nga May 8, 2018 ng’alagira akulira ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango okuddamu okuzimba ekitongole kino.
Yagambye nti mu kusunsula abaserikale abaagala okuddamu okukolera mu kitongole balagiddwa okujjuza empapula ezisaba okugyegattako kuba wateereddwaawo ebiragiro n’amateeka bye bagenda okugoberera nga bakola.
Okusunsula abantu bano kwakuliddwa omumyuka w’ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, SCP Joseph Obwona ng’ali wamu n’akulira SID, SCP Elly Womanya, avunaanyizibwa ku nzirukanya y’emirimu mu CID, Fred Enanga, n’abakulira ku kunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu bitundu eby’enjawulo.