Omuwendo gw’abasibe ogutanategeerekeka batolose mu kaduukulu ka Uganda Police Force ya Jinja Central Police Station enkya yaleero. Abasirikale abakwasiddwa omulimu gwokukuuma abasibe bano okuyita mu weekendi bbo ababiri bakwatiddwa dda bannyonyole engeri abasibe gyebabatoloseeko.
Kigambibwa nti abasibe bakozesezza akatayimbwa okumenya ekkufulu ku ssaawa nga bbiri n’ekitundu ezookumakya nebatoloka ngabasirikale babatunuulira butunuulizi.
Aberabiddeko nagaabwe bagamba nti abasibe abamu bayise mu mulyango oguyingira Poliisi ate abalala babuuse kikomera nebayita mu Regional Fire and Rescue Services Department, esangibwa emabega w’ekizimbe kya Poliisi.
Shaban Musonke, kinyoozi mu saloon esangibwa mu maaso g’omulyango oguyingira ku Jinja CPS Police Station agamba nti abasibe bagenze bawoggana nebabuukira booda booda ezisimba ku kizimbe ekirinaanyeewo.
Poliisi tenavaayo namuwendo gw’abasibe bameka abatolose, wabula omu ku bambega ba Poliisi atayagadde kumwatuukiriza mannya agamba nti abatolose babadde 17 nga bano abasinga bakwatibwa mu bikwekweto Poliisi byeyakola mu budde bwa curfew mu wiiki eno.
Ye omwogezi wa Poliisi ow’ettuntundu ly’e Kiira James Mubi bwetuukiridde atutegeezezza nga bambega ba Poliisi bwebakyanoonyereza ku nsonga eno.
Bya URN
Courtesy Photo