Abasimi ba zzaabu abaagobwa mu birombe e Mubende boolekedde okwegugunga.

Abasimi ba zzaabu abasukka mu mitwalo mukaaga (60,000) abaagobwa mu birombe e Mubende balabudde nga bwe bagenda okweyiwa ku nguudo beegugunge singa omukulemebeze w’eggwanga tavaayo kujja kubasisinkana nga bwazenga abasuubiza. 

Bano abeegattira mu kibiina kya Mubende United Miners Assembly abakulembeddwamu omuwandiisi mu kibiina kino Kibirige Emmanuel, bagamba nti bukya nga bagobwa mu birombe bya zzaabu bino kati emyezi 8 omukulembeze w’eggwanga azzenga abalagaanya nga bw’agenda okubasisinkana naye n’atajja so nga tebalina we basula oluvannyuma lw’ennyumba zaabwe okutwalibwa, abaana baabwe tebakyasoma kw’ogatta n’amabanja gebeewola agabali mu balago mu kiseera kino oluvanyuma lwo okugobwa mu birombe bya zzaabu nga 4 Ogwomunaana omwaka oguwedde 2017 .

Kinajjukirwa nti amagye ga UPDF wamu ne Police byalumba bantu abaali basima zzaabu mu birombe okuli Lugongwe, Kampala, Lujinji A, Lujinji B, Lujinji C ,Nfuka, Kabadda, Kagaba ne Lubaali ebisangibwa mu ggombolola y’eKitumbi ne Bukuya e Mubende era nga ebintu byabwe byonna baabibalesa.

Leave a Reply