Abasimi ba zzaabu e Mubende abasoba mu mitwalo etaano (50.000) bayingidde olunaku olwokubiri nga beegugunga okuwakanya eky’okubagoba mu birombe.
Bano okutuuka okwegugunga kiddiridde okufuna amawulire nti Gavumenti eteekateeka okubagoba mu kirommbe omusimwa zzaabu e Kitumbi Mubende.
Ebirombe mwebagobwa kuliko eky’e Lujjinji A, Lujjinji B Lujjinji C okwo kwogatta ne Kamapala ebisangibwa mu ggombolola y’e Kitumbi e Mubende.
Ye omubaka mu Palamenti owa Bukuya Dr. Micheal Bukenya ategeezezza nti kirabika waliwo ababuzaabuza Pulezidenti Museveni okugoba abantu kuba bano tebalina waakudda.