Waliwo Abayisiraamu mu Disitulikiti y’e Kamuli abasonze ensimbi obukadde 16 okusengula bizinensi z’abatunda embizzi wamu n’ebirabo by’omwenge mu kitundu webagenda okuzimba muzikiti gwabwe n’essomero.
Ensimbi zino zaakuliyirira abo abasenguddwa era nga zaasondeddwa mu kusaala Eid olunaku olw’eggulo mu Munisipaali y’e Kamuli.
Omubaka mu Palamenti owa Munisipaali y’e Kamuli , Hajati Rehema Watongola ye omu yawaddeyo obukadde kkumi n’agamba nti kyabwenkanya okusonda ensimbi baliyirire abantu bano nga tebannasengulwa.