Ababaka ba Palamenti Bannakibiina kya National Unity Platform – NUP bazzeemu okulaajanira Kkooti e Masaka nga baagala wakiri bayimbulwe ku kakalu kaayo kuba bali mu mbeera mbi mu kkomera gyebali.
Ababaka Ssegirinya Muhammad ne Ssewanyana Allan basinzidde mu kkomero e Kigo nebategeeza Omulamuzi wa Kkooti Ento e Masaka Nantege Christine nga bwebayisibwa obubi mu Kkomera nga bagaana abantu baabwe okubakyalira wadde abasawo baabwe okubakeberako, ate nga babakeeza okubatuuza mu bisooto n’ekigendererwa ekyokubaswaza eri basibe banaabwe so nga Babaka babantu abasaanye okuweebwa ekitiibwa.
Bano baagala omuwaabi wa Gavumenti Birivumbuka Richard ayanguye okunoonyereza kwakola kuba bakooye kati olufuuse oluyimba lwa Kkooti olwokwongezangayo omusango.
Wabula omuwabi wa Gavumenti Birivumbuka mukwanukula ensonga zino zonna agambye nti abade takimanyi nti Ababaka bakeera kutuuzibwa mu bitoomi nagamba nti wakwogerako nabakulira ekkomera e Kigo wabula ku nsonga y’okubagaana okulaba abenganda zaabwe saako n’abasawo baabwe agambye nti kino kyasalibwawo akulira ekitongole ky’amakomera nti kubanga bekengera ekirwadde kya covid-19.
Omulamuzi azzeemu okulagira abakulira ekkomera ly’e Kigo okukiriza ababaka okulaba abantu baabwe era basobole nokuzaayo abaana baabwe ku masomero.
Omusango guddamu nga 22/2 /2022