Abasirikale ba Poliisi 3 abakuuma Ssentebe wa Uganda Land Commission basindikiddwa ku alimanda

Abasirikale ba Poliisi 3 abakuuma Ssentebe wa Kakiiko k’ettaka aka Uganda Land Commission basindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Kitalya ku misango egyekuusa ku kukozesa obubi offiisi wamu n’okugezaako okulemesa abasirikale okukola okunooyereza n’okwaza offiisi.
PC Richard Godfrey Anywar, PC Titus Wamono ne PC Edward Turyatunga bebatwaliddwa mu Kkooti evunaana abali b’enguzi n’abakenuzi eya Anti-Corruption Court wamu ne mukama waabwe Ssentebe w’akakiiko ka Uganda Land Commission Beatrice Byenkya Nyakaisiki.
Bano okukwatibwa kyadiridde Kaliisoliiso wa Gavumenti okwemulugunya nti abantu 4 nga 4-January-2022 balemesa IGG okukola okunoonyereza okuli mu mateeka nga baaza offiisi za ULC.
Abasirikale bano 3 begaanye emisango gino mu maaso g’omulamuzi Joan Aciro wabula nebasindikibwa ku alimanda kuba tebabadde n’ababeyimirira.
Omulamuzi era yafulumizza ekibaluwa ki bakuntumye ku Nyakaisiki ekimuyita okulabikako mu Kkooti ku lunaku olwokubiri wiiki ejja okwennyonyolako ku misango gyegimu.
Leave a Reply