abasirikale ba poliisi 49 abagaanye okuddayo okusoma bayimiriziddwa

Omuduumizi wa Poliisi mu ggwanga, Martin Okoth Ochola, ayimirizza abaserikale 49, ng’abalanga kujeemera biragiro bye. Mu kiwandiiko ekyateekedwako omukono gw’avunaanyizibwa ku bakozi mu poliisi, Hajji Moses Balimwoyo, ku lwa Ochola, kyategeezezza ng’abaserikale bano bwe baali baalagirwa okugenda okutendekebwa e Kabalye mu disitulikiti y’e Masindi, kyokka ne bagaana awatali kuwa nsonga yonna. Ochola yalabudde nti ssinga wanaabawo ajeemera ekiragiro ky’awadde naye ajja kuvunaanibwa.
Abamu ku baagobeddwa ye; ASP Grace Azira, ow’e Kabalagala, ASP Peter Oyesigye akolera e Kiruhura, ASP Dickson Odongo, (Kira Divisoni), IP Eldad Mugisha ( Kampala), Gastone Twinamatsiko (Buikwe), Dan Ampadde (Kawempe), Emmanuel Luwuliza (okuva mu kitongole ekirwanyisa obutujju), Enos Wandibah (Masaka), Gordian Kato (poliisi ennawunyi), Samuel Masaba (Kaliro), Caroline Alumo (Jinja), Moses Cohen Acellam(Kyegegwa), Charles Chuma ( Kabarole), George Nyende ( Kiboga), Ambrose Byamugisha, Julius O.Obura (Mukono), Charles Emadu( Sironko) ne Patrick Oneka (CPS).
Abalala kuliko; Charles Kirunda, ne Moses Sekasi abakolera ku poliisi y’e Wandegeya, Fredrick Wasswa (Kaliro), Moses Bongo (Kabalagala), James Bamwesigye (Kibuli), Livingstone Kalule (Masaka), Charles Mugerwa Kampala) Charles Buyinza (Lira), Eliaza Oucha (Kaliro), Stephen Mbusa ekitongole ekirwanyisa obutujju), Wilson Tegule (Kabalagala), Christopher Olua (Iganga), Denis Wandera (Nsangi) ne Stuart Kanzira (Bushenyi).
Moses Dramadri (akolera ku poliisi ya Palamenti), Paul Khaukha (Iganga), Stephen Opoka, John Paul Ipurale (Sironko), Samson Kapere(Kabarole), Myres Kamukama(Rubanda), Sezi Bwambale (Kyenjojo), Joseph Angudezu Adiaa( Kakira), Robert Eyotu( Hima), Nobert Berutsya, Yonah Kanana( Mayuge), Julius Kagolo( Tororo), Zuwena Namaganda( Mubende), Brian Kawoire, Moses Vuciri ne Elias Kanyesiime(Ntebe).
Ochola era yalagidde abakulira Poliisi abaserikale bano gye babadde bakolera obutaddaamu kubawa mulimu gwonna. Okusinziira ku kiwandiiko kino, Ochola era yalagidde ababadde bakulira abaserikale bano, okukuhhaanya fayiro ezirimu ebikwata ku baserikale bano bazitwale ku kitebe kya poliisi e Naguru bazikwase avunaanyizibwa ku nsonga z’abakozi mu poliisi.
Kigambibwa nti, abaserikale abaaganye okutendekebwa baaliko mu ttendekero lya poliisi e Kabalye nga be bamu ku batendeka abaserikale. Baabagaba mu bitundu eby’enjawulo nga baabadde bayitiddwa baddemu okutendekebwa n’oluvannyuma baweebwe obuvunaanyizibwa bw’okutendeka bannabwe kyokka ne bagaana nga Ochola kye yavudde asalawo okubayimiriza ku mulimu okumala ekiseera kyataayogedde.

Leave a Reply