Kitalo!
Abaserikale ba Uganda Police Force 2 bakakasiddwa okuba nga bafiiridde mu kabenje bbo abalala 14 nebabuukawo n’ebiwundu oluvannyuma lwokuggwa ku kabenje olunaku lweggulo kabangali ya Poliisi kwebabadde batambulira bweyagudde neyefuula.
Akabenje kano kagudde Paicho ku luguudo lwa Gulu – Kitgum nga kigambibwa nti babadde bagenda kukola mirimu gya Poliisimu Disitulikiti y’e Agago.