ABASIRIKALE BA UPDF 20 BALUMIZIDDWA MU KABENJE:
Abasirikale ba Uganda People’s Defence Forces – UPDF 20 bagudde ku kabenje ku kyalo Nabiswa mu Disitulikiti y’e Kibuku enkya yaleero.
Okusinziira ku babaddewo bagamba nti emotoka ekika kya Prado TX nnamba UBC 391B nga kigambibwa nti abadde ayogerera ku ssimu yeyingiridde Loole y’eggye lya UPDF nnamba H4DF2318, ebadde etambuza bano abazirwanako.
Okusinziira ku mwogezi wa UPDF owettundutundu lya Elgon/Bukedi Jude Wandera agamba nti abazirwanako babadde bagibwa Mbale nga batwalibwa mu Singo Army training school.
Bano bebamu ku basirikale 1000 abawummula abayitwa okutwalibwa okukuuma emirembe e Somalia. Prado bwetomedde Loole yevulungudde nerumya abantu 20.
Ddereeva wa Prado olumaze okukola akabenje nabulawo, abalumiziddwa ne baddusibwa mu Ddwaliro lya Mbale Regional Referral Hospital okufuna obujanjabi.