Abasirikale ba UPDF abalabikidde mu katambi nga bakuba omuntu basindikiddwa mu kkomera

Abasirikale b’Eggye lya UPDF 5 abakwatibwa ku bigambibwa nti bebalabikira mu katambi nga bakuba omuntu wabulijjo emiggo eyali agambibwa okubeera omubbi wa piki piki olunaku olwaleero basimbiddwa mu Kkooti ekwasisa empisa eya 505 Brigade Unit Disciplinary Court ebadde ekubirizibwa Lt. Col. ML Kigundu mu Lagot Parish, Mucwini Sub-county, mu Disitulikiti y’e Kitgum.
Abasirikale okuli; Corporal Odong Richard Burton, Private Omara Martine Henry, Private Mongu Acel Sunday, Private Ogwang Denish ne Private Omara Morish bavunaaniddwa omusango gwokutulugunya wamu n’okulumya omuntu ategerekese nti ye Omon Nelson nga 11 December 2023 ekikontana n’akawayiro 312(d) ne 5(k) mu Prevention and Prohibition of Torture Act, 2012.
4 ku bano olunaku olwaleero mu Kkooti yamaggye etudde baweereddwa ekibonerezo kyakusibwa omwaka 1 mu kkomera lya Lira Government Prison era nebagobwa ne mu maggye.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Lord Mayor Erias Lukwago avuddeyo nategeeza nti kati omuntu afunye wasiza oluvannyuma lwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okugoba abakulira ekitongole kya Kampala Capital City Authority - KCCA Lukwago balumiriza nti bebaviirako ekikangabwa ekyagwa e Kiteezi. Wabula Lukwago akalambidde nti Pulezidenti Museveni alina okuvaayo neyetondera abantu b'e Kiteezi.
Bya Nasser Kayanja
#ffemmwemmweffe

Lord Mayor Erias Lukwago avuddeyo nategeeza nti kati omuntu afunye wasiza oluvannyuma lwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okugoba abakulira ekitongole kya Kampala Capital City Authority - KCCA Lukwago balumiriza nti bebaviirako ekikangabwa ekyagwa e Kiteezi. Wabula Lukwago akalambidde nti Pulezidenti Museveni alina okuvaayo neyetondera abantu b`e Kiteezi.
Bya Nasser Kayanja
#ffemmwemmweffe
...

21 2 instagram icon
Uganda Police Force mu Kiteezi Parish esobeddwa olwemisango egyekuusa ku kisaddaaka baana egyeyongedde mu zzooni okuli; Kizingiza ne Kabaganda in mu Kasangati Town Council mu Disitulikiti y'e Wakiso.
Abaana 4 abali wakati wemyaka 6-10 bebakattibwa wakati wa January ne September.
Abaana bano basooka kuwambibwa, nebabasobyako oluvannyuma nebabatuga nga bakozesa engoye zaabwe olwo emirambo nebagisuula mu nsiko erinaanyeewo.
Poliisi emyezi 9 ekyalemereddwa okukwata abampembe bani.
Bya Kamali James 
#ffemmwemmweffe

Uganda Police Force mu Kiteezi Parish esobeddwa olwemisango egyekuusa ku kisaddaaka baana egyeyongedde mu zzooni okuli; Kizingiza ne Kabaganda in mu Kasangati Town Council mu Disitulikiti y`e Wakiso.
Abaana 4 abali wakati wemyaka 6-10 bebakattibwa wakati wa January ne September.
Abaana bano basooka kuwambibwa, nebabasobyako oluvannyuma nebabatuga nga bakozesa engoye zaabwe olwo emirambo nebagisuula mu nsiko erinaanyeewo.
Poliisi emyezi 9 ekyalemereddwa okukwata abampembe bani.
Bya Kamali James
#ffemmwemmweffe
...

17 0 instagram icon
Omwogezi wa Minisitule evunaanyizibwa ku nsonga zomunda mu Ggwanga Simon Mundeyi ategeezezza nti alipoota eyomwaka 2024 ekwatagana ku butwa okuva mu Government Analytical Laboratory e Wandeya, bweyazuula obutwa mu misango 967 nga gyaali gyekuusa ku butwa kwegyo 3,868 egyatwalibwayo wakati wa January - September 2024.
Agamba nti obutwa obusinga bwaddagala erikozesebwa mu byobulimi 42.4%. Nga Disitulikiti ezasinga okukosebwa kuliko; Pallisa, Budaka, Mbale Serere nendala mu bugwanjuba bwa Uganda.

22 0 instagram icon
Kitalo!
Omumyuuka wa Pulezidenti wa National Unity Platform owebugwanjuba Maama Jolly Mugisha afudde. Ono afiiridde mu Ddwaliro lya Mbarara Regional Hospital ngabadde mu conma mu Intensive Care Unit. 

27 2 instagram icon
Ekitongole kya NIRA kyeddizza ogwokuwandiisa wamu n'okugaba Marriage Certificate okuva mu Uganda Registration Services Bureau ebadde ekola omulimu guno.
Bya Kamali James 
#ffemmwemmweffe

Ekitongole kya NIRA kyeddizza ogwokuwandiisa wamu n`okugaba Marriage Certificate okuva mu Uganda Registration Services Bureau ebadde ekola omulimu guno.
Bya Kamali James
#ffemmwemmweffe
...

36 0 instagram icon