abasomesa b’e makerere beremye

Embeera eyongedde okusajjuka ku kasozi k’abayivu e Makerere oluvannyuma lw’abayigisa okussa ekimu nga enkuyege nti kagwake k’etonnye sibaakuyingira bibiina okutuusa nga abakulembeze baabwe baggyiddwako emisango egyabassibwako nebazzibwa ku mirimo.
Bano ababadde abakaawu okukira omususa mu lukiiko lwebayise bakubye Enkanda wansi nebamalirira okugenda mu maaso n’akeediimo kaabwe nga bekikwatako babawadde ennaku ssatu nga baatuukirizza okusaba kwabwe.
Era bano bakkaanyizza nti mu bulumi obutoogerekeka baakumala ennaku zino ssatu nga tebasomesa baana ba Ggwanga.
Mu ngeri yeemu bakkaanyizza okuddamu okuyita olukiiko gaggadde kulwokuna lwa ssabbiiti eno, okusinziira ku mbeera bwenaabeera olwo basalewo eggoye.
Wabula mu lukiiko lwerumu okusagambiza nga kwotadde n’enduulu ey’akalaakelaake bibuzeeko katono okutta abateesa, omumyuka wa ssenkulu wa ssettendekero ono, Ssaabakenkufu Barnabas Nawangwe bwakatyemudde nga bwali omwetegefu okuteesa awamu n’okukolerera okussanganamu ekitiibwa ku njuyi zombi.
Wabula ekibya kibuze omukombi ono bwagudde nnyini ntebe w’ekibiina ekitaba abasomesa ku ssettendekero ono omukenkufu Dauce Kamunyu Muhweezi mu kifuba, olwo oluyoogaano nerukira oluba ku ssengejjero.
Kinnajjukirwa nti akeediimo Kano kaakakulungula ssaabbiiti bbiri nnambirira nga eno gyetulimu yeeweza ey’okusatu , nga abaana abeekulubeeseza mu bibiina ku ssettendekero ono batengejjeraybusa, baabuwe nebadda mu buzigo n’ebisulo byabwe nebeewunika!!

Leave a Reply