Abasomesa mu ssettendekero wa Makerere Yunivasite basazizzaamu akeediimo kaabwe kebaatandika gyebuvuddeko nga baagala basasulwe ensimbi zaabwe zebabanja .
Ssentebe w’ekibiina kya MUASA, Dr. Muhammad Kiggundu yaavuddeyo n’a’kakasa kino n’agamba nti basazizzaamu akeediimo kaabwe basobozese akakiiko akassibwawo okunoonyereza ku mivuyo egiri ku ttendekero lino okukola obulungi ku nsonga zaabwe awamu n’okukola okunoonyereza kwabwe nga tebataataaganyiziddwa.
Kino kiddiridde ettendekero lino okuba nga lyaggalwawo ku biragiro by’omukulembeze w’eggwanga olw’abasomesa abaali batadde wansi ebikola nga beediimye olw’obutasasulwa nsimbi zaabwe okumala ebbanga eddene nga kyaviirako n’anayizi nabo okuva mu mbeera nebeekalakaasa, ekyawaliriza Pulezidenti Museveni okuggala ettendekero lino .
Wabula abasomesa bano basazizzaamu akeediimo kaabwe era nga kino kyeyoleka lwatu nti n’ettendekero lyandiggulwawo essaawa yonna okuva kati.