Abasuubuzi mu katale ka Jinja Napier naddala abo abaayonooneddwa emidaala gyabwe nga aboobuyinza mu Municipo y’e Jinja bakola ekkubo mu katale kano bagumbye ku Yafeesi ya RDC w’e Jinja nga baagala Gavumenti ebaliyirire olw’okufiirwa emmaali yaabwe .
Omusasi waffe Solomon Baleke atutegeezezza nti emidaala gya bantu abasoba mu 50 gyaggyiddwawo ebimotoka bi weetiiye mu kaweefube w’okukola ekubo mu katale katale kano nga kino kyasalibwawo olw’omuliro ogutatadde ogubadde gukwata akatale kano nga Police eremererwa okuguzikiza olw’obutabaawo kkubo mweyiyata kutuuka weguba gukutte .