Abasuubuzi e Rukungiri beekalakaasizza era tebagguddewo maduuka gaabwe olwaleero mu kuwakanya enkola ya Gavumenti okusibira Dr. Kizza Besigye eyavuganyiza ku kaadi ya FDC mu kalulu ka 2016 mu makage agasangibwa e Kasangati mu Disitulikiti ye Wakiso .
Wabula Ssabiiti ewedde ayogerera FDC Ibrahim Ssemuju Nganda yalangirira okujeemera enteekateeka za Gavumenti nga nga bannakibiina bambala emijoozi emiddugavu buli lwakubiri n’okuggalawo emirimu gyabwe buli lwakuna olwa Police okutulugunya Besigye .
Na bwekityo enkya ya leero abasuubuzi ba nnannyini maduuka tebagguddewo maduuka gaabwe okuggyako abantu abatonotono ababadde batambulatambula mu kibuga . Tewalu dduuka ligguddwa ku luguudo lwa Karegyesa olusinga okubaamu emirimu emingi mu Municipali ye Rukungiri. Muno mulimu amaduuka agatunda ebizimbisibwa, eby’amasannyalaze n’amaduuka agasuubuza .
Bo abamu ku basuubuzi abatutumufu mu Rukungiri omuli Ssonko Turyatemba , Batuma n’abalala bagamba nti wadde waliwo okutiisibwatiisibwa , baakwongera okugenda mu maaso n’okuggalawo amaduuka gaabwe buli lwakuna .