Abataka Abakulu b’Obusolya ne ba Katikkiro baabwe bakungubagidde munnaabwe Omutaka Lwomwa

Abataka Abakulu b’Obusolya ne ba Katikkiro baabwe bakungubagidde munnaabwe Omutaka Lwomwa Daniel Bbosa eyabavudde ku maaso
Bambadde e kkanzu enjeru okutali kkooti, nga akabonero akalaga okunyolwa.
Basinzidde mu nsisinkano yaabwe eyayitiddwa okubaako byebateesa wamu nokusiima emirimu Lwomwa gyakoledde obwakabaka, Ekika ky’Endiga n’obuganda okutwaliza awamu.
Omukulu w’ekika kye Mbogo, Omutaka Kayiira Gajuule, eyaweereza n’omutaka Lwomwa ku lukiiko lw’omukubiriza w’Abataka, ayogedde ku mugenzi nga omuntu eyaleeta ekiteeso kyokutandika omusomo gw’Abataka ogw’obuwangwa n’ennono, yavujjiirira enteekateeka z’emizannyo gy’Ebika bya Baganda, n’entuula z’Abataka ez’enjawulo.
Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omutaka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba, amwogeddeko nga omuntu abadde omukakkamu, omuteesa omulungi, awabula, ateenyigira mu nkayaana, era atambulira mu ddiini wamu n’obuwangwa bwe.
Leave a Reply