Abatembeeyi mu Kampala bongedde okweyiwawo oluvannyuma lw’ebikwekweto by’ekitongole kya KCCA okuyimiriramu.
Kino kijjidde mu kiseera nga KCCA yayimirizza ebikwekweto byayo oluvannyuma lw’omukyala omutembeeyi Olivia Basemera okugwa mu mwala olwokutaano lwa ssabbiiti ewedde nga aba KCCA bamugobaganya n’afiiramu.
Nabwekityo okufaakwe kwaviirako abantu bangi nga mwotwalidde ne bannabyabufuzi okukukkulumira KCCA olw’okukozesa amaanyi amangi ng’egobaganya abatembeeyi.
Kino nno kiwadde omwagaanya abatembeeyi okweyiwa ku nguudo mu Kampala ekinyiizizza ennyo ab’amaduuka era nebagamba nti nabo bagenda kuyiwa ebintu byabwe ku nguudo kubanga tebakyatunda wadde.