Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni agamba nti abatemu abasse Andrew Felix Kaweesi abadde omwogezi w’ekitongole kya Police ya Yuganda, Gavumenti yaakubayigga nabo ebatuuse ku kyokya nga ebatta.
Pulezidenti Museveni yabadde ayogerera mu kukunguba wali mu maka g’omugenzi Kaweesi e Kulambiro akawungeezi akayise nga geesudde akabanga mpa wekaaga okuva omugenzi weyattirwa ku makya g’olwokutaano.
Agamba nti kino kyekiseera abazigu bano gyebeekukumye bakukunukeyo beeweeyo mu mikono gya Gavumenti oba ssikyo Gavumenti egenda kubeenoonyeza ebamize omusu.
Wabula era Museveni agamba nti abatemu okutuuka okwegiriisa bati batuuke okukola ebikolwa eby’ekko mu ggwanga, oluusi kiva ku bakozi ba Gavumenti abagipeeka omusala enkya n’eggulo nebatuuka okulemesa Gavumenti okutuukiriza ebigendererwa byayo omuli n’okuteeka Kkamera enkessi mu bifo ebitali bimu ezandisobodde okulaba abakola ebikolwa bino.
“Abakozi ba Gavumenti, mbasaba mwenenye Obwakabaka bwa Katonda bunaatera okutuuka, buno obwa nnaasiwa mu kange bukome, eggulo nalagidde Kkamera zitandike okuteekebwa mu bifo ebyenjawulo mi ggwanga era sseetaaga Muntu ataataaganya kino”. Pulezidenti Museveni agamba.