Police e Luweero eri ku muyiggo gwa bantu abatannategeerekeka abasse omukadde Nantale Elizabeth ow’emyaka 63 ku kyalo Kabakedi ekisangibwa mu ggombolola y’e Luweero mu Disitulikiti y’e Luweero.
Omusasi waffe e Luweero, Alamanzan Ssali Mulengera atutegeezezza nti abatuuze mu Disitulikiti y’e Luweero bawanjagidde Police eyongere ku bukuumi naye obutemu bwongedde okukuula ejjembe era bubasuza bakukunadde nga lumonde mu kikata.
Police eggyewo omulambo gw’omukadde ono n’egutwala mu ddwaliro e Luweero nga bwekyakola okunoonyereza