Nga December 8 2015, Bus eyali etambuza abasambi ba Uganda Cranes abaali bakawangula ekikopo ky’omulundi ogwe 14 mu mpaka za ‘East and Central Africa Challenge Cup’ mu Ethiopia mu kabuga ke Jami Trading Centre mu Budaka District ku luguudo lw’e Mbale-Tirinyi. Abazannyi baali bava Soroti State Lodge gyabaali balaze okusanyukira obuwanguzi bwabwe ne President Museveni.
Bus ya Uganda Cranes nnamba UG 2236E yatomeregana ne takisi nnamba UAT 573P. Inspector wa Police, James Okumu Neema, yalaga mu report ye gyeyakola yagamba nti Bus ya Cranes embeera gyeyalimu yali teyetaaga kubeera kukubo.
Mu kabenje kano mwafiiramu abantu 7 Samuel Kakungulu, 34 omutuuze eyali avuga bus ya Uganda Cranes, Zahab Nakisiyi, 20 omutuuze w’e Kifiriro e Mbale District, Charles Mwima 30, omutuuze we Lyama-Bulangira mu Budaka District, Junior Namonyo, 7 ow’e Bunandalo mu Sironko District, Proscovia Nakaima, 28 ow’e Kajoko mu Kibuku District ne Muwala we ow’omwaka ogumu Rehema Bulange. Abalumizibwa kwaliko Ali Muwoya, 25, Juma Kibowe 35, Wilson Kirya 22, Tomasi Taliwo 38, Yunusu Muyimbwa 26, Wabwire Walter 28, Simon Nabendeh 35 ne Muhammad Tagoya 19.
January 2, 2018 President Museveni ne Ministi w’ebyenjigiriza Janet Museveni bwebakyaaza ‘She Cranes’ e Rwakitura n’abaddusi bavaayo nebategeeza nga bwebaali bawaddeyo akawumbi kamu eri FUFA okudduukirira ab’enju zaabo abali mu kabenje kano.