Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Nga bwenabagamba nti abo bonna abatta abantu Mbizzi, nkikaatiriza nti omuntu yenna atta abantu nga si lutalo mbizzi. Ekisinga obukulu bano bonna basiru. Berabira nti buli musango oguzzibea gulekawo obujjulizi obusobola okutandikirwako nebakwatibwa. Ku kutibwa kwa Kaweesi, Kiggundu ne Abiriga, ab’ebyokwerinda balagayamu. Mujjukira bulungi oluvannyuma lw’obutemu buno, nalaga Palamenti ensonga 10 okulwanyisa obumenyi bw’amateeka nga 20-June-2018.
Wadde nga tetunasobola kutuukiriza byonna, abatemu bonna abenyigidde mu ttemu lino bakwatiddwa. E Masaka ekibinja kya Kiddawalime kyamalibwawo abamu battibwa ate abalala bakwatibwa, Sserugo Paul ne banne e Masaka, Kanyesigye Julius aka Mwesigye Amon e Rwizi ne Kampala ne mu muzigiti gwa Usafi bonna bamalibwawo.”