Abatuuze abasoba mu 200 ku kyalo Kanyogoga ekiri mu ggombolola y’e Kikyusa mu Disitulikiti y’e Luweero bagumbye ku kitebe kya Disitulikiti eno nga bakkukkulumira omugagga okukozesa yafeesi ya Pulezidenti okubagobaganya ku ttaka lyabwe.
Omugagga ayogerwako ye Kitaba Erizmas era nga bano balaajanira Pulezidenti Museveni aveeyo akozese obuyinza bwe abataase.