Abatuuze 200 mu bitundu by’e Nakawuka basula ku tebuukye olwa bannannyini ttaka okubalagira okwegula oba okuva ku ttaka lino.
Baasinzidde mu lukiiko lw’ekyalo olwetabyemu n’abakulembeze abalala e Ngongolo – Nakawuka mu Town Council y’e Kajjansi mu disitulikiti y’e Wakiso.
Olukiiko luno lwakubiriziddwa Daniel Nsubuga ssentebe w’ekyalo n’ategeeza nti, bannannyini ttaka baaluzize kyokka nga baabadde baagala bakolagane okulaba ng’abatuuze tebamala gagobebwa mu bibanja byabwe.
Nsubuga yategeezezza abatuuze nti, bannannyini ttaka baamuggulako emisango okuli n’ogw’okulemeza abatuuze mu bibanja ku poliisi e Ntebe n’agamba nti, tagenda kukkiriza kutiisibwatiisibwa.
Yabakakasizza nti, agenda kubalwanirira okutuusa nga bafunye obwenkanya baleme kugobebwa era yabagambye bagende mu maaso n’okuzimba.
Yayongedde n’abakuutira okusigala nga basasula busuulu wabula n’abalabula obutakkiriza kukakibwa kwegula mu ttaka nga tebannafuna busobozi kuba balina eddembe okubeera mu bibanja byabye mu mateeka. Ssentebe mu lukiiko luno abatuuze yabanjulidde munnamateeka Isaac Mwesigwa anaabayamba okubalwanirira okusigala ku bibanja nga tebanyigiriziddwa.
Yagambye nti nannyini ttaka omu Kibirige Sserwaniko alina yiika 75 ku kyalo Ngongole ng’ono y’asinze okubasindiikiriza. Era yayongeddeko nti, ono yamuggulako omusango ku poliisi nti, akuma omuliro mu bantu baleme kuva mu bibanja ku poliisi y’e Nakawuka n’ogw’okusaalimbira ku ttaka n’agamba nti emisango agenda kugiwangula.
Ate ye Isaac Mwesigwa yakuutidde abatuuze okukkiriza okuteesa n’abo bannannyini bibanja abanakkiriza okuteesa n’abalabula obutakkiriza kunyigirizibwa ng’abakaka okwegula mu ttaka nga tebalina ssente.
Agnes Nansubuga omu ku batuuze gwe bagobagganya mu kibanja agamba nti yakisengako mu 1992 kyonna nnannyini ttaka ekibanja kwe kiri Ssejjoba amugobaganya naye nga wano we yafumbirwa n’okuzaala abaana.
Ate ye Kibirige Sserwaniko eyayongeddwaako ng’abagobaganya abantu yategeezezza nti, talina muntu yenna gw’agobaganya ku ttaka naye ssentebe Nsubuga y’ateekawo embeera eno mu bantu era yamuloopa ku poliisi omusango guli mu kkooti.