Lord Mayor Ssaalongo Erias Lukwago Munnakibiina kya Forum for Democratic Change – FDC yataasizza Omubaka wa Kawempe South Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Haj Kazibwe Bashir Mbaziira ku batuuze bakiikirira ababadde bataamye obugo nga baagala omuganjabula nga bagamba nti ono muli wankwe.
Ono yabadde agenze mu lukiiko olwayiyiddwa Mmeeya wa Kawempe Dr. Emmanuel Serunjongi okusala entotto ku kiyinza okukolebwa ku batembeeyi abagiddwa ekitongole kya Kampala Capital City Authority – KCCA. Abatembeeyi olwalabye omubaka Bashir nga ayingira mu kifo webabadde nebatabuka nabatandika okumusikasikanya okutuusa Lord Mayor bweyabasabye bakakane era bamuyisizza mmanju wa kizimbe.