Abatuuze ku byalo bisatu e Mubende babunye emiwabo Police n’amagye bwebiyiiriddwa mu kitundu era nga kati bangi ku bo baliira ku nsiko.
Bino bibadde ku byalo okuli, Kawololo, Kisagula, Kisagazi ebiri mu muluka gw’e Kisagazi mu Ggombolola y’e Butoloogo mu Disitulikiti y’e Mubende.
Kansala akiikirira Omuluka gw’e Kisagazi, Japhali Kayongo Ssebuliba ategeezezza Simba nti embeera ebasobedde nabo okulaba nga abaserikale ba Police n’amagye abasukka mu 100 bayiiriddwa mu kitundu kino n’ekigendererwa eky’okukuuma omugagga ababbako ettaka, Bivanju Samuel nga ayelula empenda z’ettaka.
Kino kiviiriddeko abatuuze mu kitundu kino okudduka ku byalo nebisigala nga byereere olw’okutya.
Wabula ye aduumuira Police e Mubende, Byaruhanga Patrick ategeezezza nti ddala kituufu abaserikale bayiiriddwa mu kitundu kino nga bassa mu nkola ekiragiro kya kkooti, okuwa obukuumi Samuel Bivanju okwelula ettaka lye erisangibwa mu kitundu kino.