Abatuuze mu kabuga k’e Busowa akasangibwa mu Disitulikiti y’e Bugiri ku luguudo mwasa njala oluva e Iganga okudda e Tororo balaajanidde Gavumenti ebateere obugulumu ku luguudo awo mu kabuga kaabwe kisobole okutagira obubenje obumalawo abantu baabwe nga buva ku bidduka ebiyitawo ku misinde egya yiriyiri .
Bano mu mbunyiivu obw’ekitalo batiisatiisizza okwekalakaasa singa Gavumenti eneesuulirayo gwa nnaggamba kubanga kumpi buli wiiki mu kifo kyekimu wabaawo akoonebwa mmotoka .
Kino nno kiddiridde omuyizi John Mudasiru ng’abadde asoma kibiina kyakusatu okutomerwa emmotokka ebadde ku misinde egya yiriyiri ng’agenda ku ssomero n’afiirawo mbulaga .Kitalo.