Police e Nansana ewaliriziddwa okuyingira mu nsonga z'okugumbulula abatuuze ababadde beesomye nga bazibye n'oluguudo lw'e Wamala – Katooke olw'enfuufu ebafuukidde ekyambika olw'abakola oluguudo olwo okulukola akasoobo.
Abatuuze bagamba nti aba kkanso baali bakola oluguudo luno naye kati kitutte wiiki bbiri nga tebayiwaamu mazzi era enfuufu enaatera okubatta, bagamba nti tebassa, tebalina mazzi kubaga ebyuma ebigatambuza abakola oluguudo baabikutulayo , tebakyaggulayo maduuka.
Nabwekityo abantu batadde ebiti mu kkubo nebabikumako omuliro baagala bayambibwe.