Emirimu gisannyaladde emisana gya leero mu ggombolola y’e Butoloogo e Mubende abatuuze bwebeekyaye nebateekera akatale omuliro ne baziba n’ekkubo mu kitundu olw’okugobwa ku ttaka.
Abatuuze bano abasukka mu lunaana baaku byalo ; Kisagazi , Kawololo , Kisagula , ebisangibwa mu ggombolola y’e Butoloogo e Mubende .
Bano beesuddemu jjulume nebateekera omuliro akatale k’ Abanyara konna ne kasaanawo kwogatta n’okuziba ekkubo lya Ngabano – Butta bwebalitaddemu agayinja n’okulitemeramu agati .
Kwagala Juliet akulembeddemu banne ategeezezza nti nga abatuuze ,ekibaggye mu mbeera kwekulaba nga abakulembeze baabwe mu kitundu tebabafuddeko nga bagobwa ku ttaka kwebaludde ebbanga omugagga Samuel Bivanju .
Wabula ye Balongo Christopher omukiise w’eggombolola eno ku Disitulikiti e Mubende annyonnyodde nti atuukiridde RDC e Mubende n’amutegeeza nga bwebagenda okukola ku nsonga zino ku lwokutaano lwa ssabbiiti eno.