Abazigu abatanategeerekeka balumbye omwalo gwe Kyakapere mu Nkondo Parish Kyangwali Sub County mu Disitulikiti y’e Kikuube nebatta abavubi 2. Abatiddwa kuliko Kelvin Ochircan ne Thotho Piyesu.
Bano balumbye omwalo guno ku ssaawa munaana ogw’ekiro nebateeka abatuuze ku mudumu gw’emmundu nebabba obukadde 100 okuva mu batuuze nebakuliita nazo.
Abavubi abamu baagezezaako okugoberera abazigu bano, wabula bwebakitegedde kwekubakuba amasasi nebatta 2.
Luii Penjonga, Ssentebe wa LC1 agamba nti abamu ku bantu ababiddwa ku mudumu gw’emmundu kuliko Ajaruva ne Mumbere nga bonna basuubuzi ku mwalo gw’e Kyakapere.
Julius Hakiza, omwogezi wa Poliisi muttundutundu ly’e Albertine agamba nti Poliisi yasindise dda abasajja baayo okukola okunoonyereza.