Abakulira eby’obuvubi mu disitulukite ye Mityana bakoze ekikwekweto nebabowa obutimba obumenya amateeka g’ebyobuvubi ku myalo egiwerako ku nnyanja Wamala .
Ekikwekweto kino kikoleddwa ku myalo munaana (8) ne ku bizinga bibiri (2) okuli ; Nkona , Bukanaga , Butebi , Kalyankoko, Kimuli , Kyandaalo n’ewalala era nga obutimba obukwatiddwa bumannyiddwa nga Kambamagi obutakkirizibwa .
Akulira eby’obuvubi e Mityana Elijah Ssenyojo agamba nti newankubadde nga bakola ebikwekweto bino naye obutimba buno obumenya amateeka buyingizibwa wano mu ggwanga enkya n’eggulo .
Ekikwekweto kino kiggyidde mu kiseera nga emyalo egiwerako ku nnyanja Wamala gyaggalwawo ab’ebyokuvuba olw’ebbula n’okukendeeera kw’ebyennyanja kyokka kino Elijah akitadde ku bavubi okukola omulimu guno gwokka ogw’okuvuba .