Abavubi mu Disitulikiti y’e Buikwe bawanda muliro

Abavubi mu Disitulikiti y’e Buikwe bawanda muliro olw’ababaka baabwe mu Palamenti obutabawa mukisa kuwa ndowooza zaabwe eri eggwanga ku nsonga z’okutongoza tekinologiya wa GMO ne bategeeza nti balina bingi bye batakkaanya nabyo ku nteekateeka eno bye beetaaga eggwanga okusooka okufumiitirizaako kyokka ababaka baabwe babasuuliridde.
Abavubi baategeezezza nti, beeraliikirivu ku tekinologiya ono nti ayinza okuttattana obutonde bw’ebyennyanja mu nnyanja ebibaddewo emyaka n’ebisiibo olwo ennyanja efuuke ekitagasa ne bongerako nti amawulire ge bawulira gagamba nti mu nsi ezaakula yo GMO tebazaagala zittattana obutonde bw’ensi kyokka ate bbo ababaka kino tebakitutte ng’ekikulu.
Omukubiriza wa Palamenti y’abalimi eno, Hussein Ssebadduka yakubidde ababaka b’ekitundu kino mu Palamenti okuli Judith Babirye ne David Mutebi omulanga okuwaayo ekiseera basisinkane abavubi bawulirize ebirowoozo byabwe kuba ensonga eno nkulu ekosa obulamu bw’abantu n’ebintu ebibeetoolodde.
Abavubi bali mu kutya nti, tekinologiya wa GMO ono ayinza okutta ebyennyanja n’ebitonde ebirala bingi mu nnyanja eby’omugaso ne bafiirwa emirimu, obutonde bw’ennyanja n’obuwangwa, kuba bangi ku bo balina emizizo egyekuusa ku nnyanja ng’ebika ebimu ebiva mu nnyanja.

Leave a Reply