Abavubuka 2 bookeddwa lwa kuteeberezebwa kutta nnyaabwe

Abatuuze ababadde bataamye obugo ku kyalo Budda mu Kibinge ekisangibwa mu Disitulikiti y’e Bukomansimbi bookezza abavubuka babiri bebaateeberezza okutta nnyabwe Nantale Josephine ow’emyaka 70 nebamuziika mu kinnya .

Ayogerera Police mu bitundu bya Masaka Afande Ibin Ssenkumbi akakasizza bino era agamba nti Police egenze okutuuka nga abavubuka baayidde dda wabula n’esobola okutaasa kojjaabwe gyebabadde baaziise nnyabwe .  Kitalo !

Leave a Reply