Abavubuka ba Buganda bawanjagidde Gavumenti eveeyo ku ttemu erikolebwa ku bannansi
Mu ngeri yeemu bagisabye efulumye alipoota ku butemu buno
Okwogera bino babadde mu kulambula amasaza ga Buganda agakola ebbendobendo lya greater Mpigi, omuli Mawokota, Butambala ne Gomba, okututte ennaku ssatu.
Bwabadde ayogera mu nsisinkano ne Maama wa Mugerwa Godfrey eyali amanyiddwa nga “Maliba” era omutandisi w’ekibiina kya Kabaka Mwennyango eyattibwa mu ngeri etaategeerekeka, Ssentebe wa Buganda Youth Council Baker Ssejjengo, agambye nti,
“Tusaba gavumenti efulumye alipoota ku kutemulwa kwa Maliba n’abantu abalala bonna abatemuddwa nga alipoota tezifulumizibwa.”
Yye Maama wa Maliba yeekokkodde embeera embi gyayitamu ne bamulekwa bukya mutabani we atemulwa nga ne gye buli eno tewali ssuubi lya bwenkanya.
Abavubuka era bavumiridde amaanyi agasusse agakozesebwa abakuuma ddembe mu kulambika entambula z’abesimbyewo ku bwa Pulezidenti. Kino nno kiviiriddeko bannansi okufiirwa obulamu n’abandi okufuna obuvune. Basabye abo abakola ebyo bakwatibweko n’omukono ogwekyuma.
Ssentebe wa Buganda Youth Council agumizza abavubuka yonna gye bayise nti Obwakabaka bulondoola bulungi bye bakola. Abakubirizza okwongera amaanyi mu buweereza okusobola okuzza Buganda ku Ntikko.